Obutaka

facebook   youtube 2

Buganda Anthem

Ekitibwa Kya Buganda

Chorus

Twesiimye nnyo, twesiimye nnyo Olwa Buganda yaffe Ekitiibwa kya Buganda kyava dda Naffe tukikuumenga
1
Okuva edda n'edda eryo lyonna Eryo eggwanga Buganda Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe Okwetoloola ensi yonna
2
Abazira ennyo abatusooka Baalwana nnyo mu ntalo Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe Naffe tulyagalenga
3
Ffe abaana ba leero ka tulwane Okukuza Buganda Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe Baafirira ensi yaffe
4
Nze naayimba ntya ne sitenda Ssaabasajja Kabaka Asaanira afuge Obuganda bwonna Naffe nga tumwesiga
5
Katonda omulungi ow'ekisa Otubeere Mukama Otubundugguleko emikisa gyo era Bbaffe omukuumenga