Ekitibwa Kya Buganda
Chorus
Twesiimye nnyo, twesiimye nnyo Olwa Buganda yaffe Ekitiibwa kya Buganda kyava dda Naffe tukikuumenga1
Okuva edda n'edda eryo lyonna
Eryo eggwanga Buganda
Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe
Okwetoloola ensi yonna
2
Abazira ennyo abatusooka
Baalwana nnyo mu ntalo
Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe
Naffe tulyagalenga
3
Ffe abaana ba leero ka tulwane
Okukuza Buganda
Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe
Baafirira ensi yaffe
4
Nze naayimba ntya ne sitenda
Ssaabasajja Kabaka
Asaanira afuge Obuganda bwonna
Naffe nga tumwesiga
5
Katonda omulungi ow'ekisa
Otubeere Mukama
Otubundugguleko emikisa gyo era
Bbaffe omukuumenga